Job 8

Birudaadi Ayogera

1Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,

2 a“Onookoma ddi okwogera ebintu bino?
Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
3 bKatonda akyusakyusa mu nsala ye?
Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?
4 cAbaana bo bwe baayonoona eri Mukama,
n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.
5 dKyokka bw’onoonoonya Katonda,
ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
6 ebw’onooba omulongoofu era ow’amazima,
ddala ddala anaakuddiramu
n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
7 fWadde ng’entandikwa yo yali ntono,
embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.
8 gBuuza ku mirembe egy’edda,
era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;
9 hkubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi,
era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.
10Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe
oba by’okutegeera kwabwe?
11Ebitoogo biyinza okumera
awatali bitosi?
12 iBiba bikyakula nga tebinnasalibwa,
bikala mangu okusinga omuddo.
13 jBw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda,
essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.
14 kEbyo bye yeesiga byatika mangu,
ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!
15 lYeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka
azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.
16 mAli ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana,
nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;
17emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja,
nga ginoonya ekifo mu mayinja.
18 nNaye bwe bakiggya mu kifo kyakyo,
ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.
19 oMazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo,
ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.
20 pMazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango,
era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
21 qAjja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko,
n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.
22 rAbalabe bo balijjula obuswavu,
era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”
Copyright information for LugEEEE